1Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ez’obuvubuka bwo,ng’ennaku embi tezinnakutuukakon’emyaka nga teginnasembera,mw’olyogerera nti, “Sizisanyukira”;2ng’enjuba n’obutangaavu,omwezi n’emmunyeenye nga tebinnafuuka kizikiza;nga n’ebire biweddemu enkuba;3abakuumi b’enju mwe balikankanira,n’abasajja ab’amaanyi mwe bakutamizibwa,nga n’abo abasa baleseeyo okusa, kubanga batono,n’abo abalingiza mu butuli nga tebakyalaba;4nga n’enzigi ez’olekedde enguudo zigaddwawo,n’eddoboozi ly’okusa nga livumbedde;ng’abasajja bagolokoka olw’eddoboozi ly’ennyonyi,naye nga ennyimba zaabwe zivumbedde;5nga batya buli kiwanvun’akabi akali mu nguudo,ng’omubira gumulisizza,ng’enseenene yeewalula era nga tewakyali alimu keetaaga kino oba kiri.Omuntu n’agenda mu nnyumba ye gy’alimala ekiseera ekiwanvun’abakungubazi ne babuna enguudo.6Jjukira omutonzi wo ng’omuguwa gwa ffeeza tegunnakutukaoba ebbakuli eya zaabu nga tennayatika,ng’ensuwa tennayatikira ku luzziobanga ne nnamuziga tennamenyekera ku luzzi,7ng’enfuufu edda mu ttaka mwe yava,n’omwoyo ne gudda eri Katonda eyaguwa omuntu.8Obutaliimu! Obutaliimu! Omubuulizi bw’agamba,“Buli kintu butaliimu.”