Omubuulizi11lug_bib

Bw’ogaba Katonda Akuddizaawo

1Siganga emmere yo ng’enkuba etonnya,kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.2Gabiranga musanvu weewaawo munaana,kubanga mu biseera eby’oluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.
3Ebire bwe bijjula amazzi,bitonnyesa enkuba ku nsi;n’omuti bwe gugwa nga gwolekedde obukiikaddyo oba obukiikakkono,mu kifo mwe gugwa mwe gulibeera.4Oyo alabirira embuyaga talisiga;n’oyo atunuulira ebire talikungula.
5Nga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo,oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto;bw’otyo bw’otosobola kutegeera KatondaOmutonzi wa byonna by’akola.
6Ku makya siga ensigo zo,n’akawungeezi toddiriza mukono gwo;kubanga tomanyi eziryala,zino oba ziri,oba zombi ziriba nnungi.7Ekitangaala kirungi,era okulaba ku musana kisanyusa.8Kale omuntu bw’awangaala emyaka emingi,agisanyukirengamu gyonna,naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ez’ekizikizannyingi ezijja.Ebyo byonna ebijja butaliimu.
9Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo,n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo;tambulira mu makubo g’omutima gwone mu kulaba kw’amaaso go.Naye manya nga mu byonna,Katonda agenda kukusalira omusango.10Noolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutimaera weggyeko emitawaana mu ggwe,kubanga obuvubuka n’amaanyi gaabwe butaliimu.