Amosi5lug_bib

Okukuba Omulanga ogw’Okukungubaga n’Okwenenya mu Isirayiri

1Muwulirize mmwe abantu ba Isirayiri ekigambo kino eky’ennaku ekibakwatako.2“Isirayiri embeerera aguddeobutayimuka nate.Bamwabuliddeera tewali amuyimusa.”3Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,“Ekibuga ekiyungula abalwanyi olukumi okugenda mu lutalokirisigazaawo kikumi bokka,n’ekyo ekiweereza ekikumi,kirizza kkumi bokka!”4Bw’ati bw’ayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti,“Munnoonye kale munaabanga balamu.5Temunnoonyeza Beseriso temulaga Girugaaliwadde okulaga e Beeruseba.Kubanga abantu b’e Girugaali balitwalibwa mu buwaŋŋanguseera ne Beseri kiriggwaawo.”6Munoonye Mukama munaabanga balamualeme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu;guligyokyanga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.
7Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba eky’okufumwa obufumwamutulugunya obutuukirivu.
8Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungiriziera afuula ekisiikirize okubeera enkyaera akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro,ayita amazzi g’omu nnyanjane gafukirira ensi ng’enkuba,Mukama lye linnya lye.9Okutemya n’okuzibula aleeta okuzikirira ku b’amaanyiera n’asaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo.
10Mukyawa abalamuzi abasalawo mu bwenkanyaera munyooma n’abo aboogera amazima.
11Olinnyirira omwavu,n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke.Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja,temuligabeeramu;era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi,temulinywa ku wayini waamu.12Ebibi byammwe mbimanyi,nga bingi ate nga bisasamaza.Munyigiriza omutuukirivu ne mulya n’enguzi,abaavu temubasalira musango mu bwenkanya.13Noolwekyo oyo alina amagezi kyaliva asirika obusirisi mu biseera ng’ebyokubanga ennaku mbi.
14Munoonyenga okukola obulungi, so si obubimunaabeeranga balamu!Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwenga bulijjo bwe mumuyita.15Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungiera embuga z’amateeka zibeerengamu obwenkanya.Oboolyawo Mukama Katonda ow’Eggye anaabakwatirwa ekisaabantu abo abaasigalawo ku Yusufu.16Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,“Walibeerawo okwaziirana mu nguudon’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga.N’abalimi baliyitibwa, bakaabe,n’abakungubazi bakube ebiwoobe.17Walibaawo okukaaba mu buli nnimiro ya mizabbibukubanga nzija okuyita wakati mu mmwe.”
18Zibasanze mmwe abasuubiraolunaku lwa Mukama.Lwaki mwesunga olunaku lwa Mukama?Olunaku olwo luliba kizikiza so si kitangaala.19Olunaku olwo lulibeera ng’omusajja adduka empologoman’asisinkana eddubu,bw’aba ng’ayingira mu nnyumbane yeekwata ku kisenge,ate n’abojjebwa omusota.20Olunaku lwa Mukama, teruliba kizikiza awatali kitangaala n’akatono,ng’ekizikiza ekikutte ennyo?
21Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiiniso sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe.22Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,sijja kubikkiriza.Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi,siribikkiriza.23Muggyeewo ennyimba zammwe ez’okutendereza.Siriwuliriza na bivuga ng’entongooli zammwe.24Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi,n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi.
25“Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddunguemyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?26Muyimusizza essabo lya kabaka wammwe,amaanyi ga bakatonda bammwe,n’emmunyeenye ya katonda wammwe,bye mwekolera mmwe.27Kyendiva mbawaŋŋangusa okusukka Ddamasiko,”bw’ayogera Mukama, ayitibwa Katonda Ayinzabyonna.