Amosi2lug_bib

1Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“Olw’ebyonoono bya Mowaabu ebisatuweewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomune gafuuka evvu.2Ndiweereza omuliro ku Mowaabuera gulyokya ebigo bya Keriyoosi.Abantu ba Mowaabu balifiirawakati mu kusasamala okungi omuliba okuleekaana n’okufuuwa amakondeere.3Ndizikiriza omukulembeze wa Mowaabun’abakungu baamu bonna, ndibatta,”bw’ayogera Mukama.4Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“Olw’ebyonoono bya Yuda ebisatuweewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.Kubanga banyoomye amateeka ga Mukama,ne batakuuma biragiro bye nabawane bagondera bakatonda ab’obulimbabajjajjaabwe be baagobereranga.5Ndiweereza omuliro ku Yudane njokya ebigo bya Yerusaalemi.”
6Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“Olw’ebyonoono bya Isirayiri ebisatuweewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.Batunda obutuukirivu bafune ffeeza,ne batunda n’abaavu olw’omugogo gw’engatto.7Balinnyiririra emitwe gy’abaavumu nfuufu,n’abajoogebwa ne batalamulwa mu bwenkanya.Omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omune boonoona erinnya lyange.8Bagalamira okumpi ne buli kyotoku ngoye ezaweebwayo ng’obweyamo.Mu nnyumba ya bakatonda baabwemwe banywera omwenge oguleetebwa abatanziddwa.
9“Nazikiriza Abamoli ku lwabwenewaakubadde nga baali bawanvu ng’emivuleera nga ba maanyi ng’emyera.Nazikiriza ebibala ebyali wagguluokutuuka ku mirandira egyali wansi.10Nakuggya mu nsi y’e Misiri,ne nkukulemberera emyaka amakumi ana mu ddungu,weetwalire ensi y’Abamoli.
11“Nayimusa abamu ku batabani bammwe okubeera bannabbi,ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge ba Mukama.Si bwe kiri bwe kityo abantu ba Isirayiri?”bw’ayogera Mukama.12“Naye mmwe ne mudda mu kuwa Abawonge ba Mukama omwenge okunywa,ne muwa bannabbi amateeka nga mubagamba nti temuwa byabunnabbi.
13“Laba, ndibasesebbulang’eggaali eryettisse ebinywa by’emmere ey’empeke bwe lisesebbula ekiri mu kkubo lyalyo.14Abanguwa tebaliwona,n’ab’amaanyi tebalikuŋŋaanya maanyi gaabweera n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.15Omukubi w’obusaale omukugu taliyimirira kunywera,n’omuserikale ow’ebigere nnakinku talisobola kuwenyuka.Abo abasajja abazira abeebagazi b’embalaasi tebalisobola kuwonya bulamu bwabwe.16Ku lunaku olwo abalwanyi abazira nnamigebalidduka bukunya!”bw’atyo bw’ayogera Mukama.