2 Samwiri3lug_bib
1Awo ne wabangawo entalo wakati w’ennyumba ya Sawulo n’ennyumba ya Dawudi okumala ebbanga ddene. Dawudi n’akulaakulana, n’aba w’amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongeranga okunafuwa.2Dawudi n’azaalirwa abaana aboobulenzi e Kebbulooni.
Omuggulanda yali Amunoni eyazaalibwa Akinoamu Omuyezuleeri,3owookubiri yali Kireyaabu eyazaalibwa Abbigayiri nnamwandu wa Nabali Omukalumeeri, n’owookusatu yali Abusaalomu eyazaalibwa Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w’e Gesuli;4n’owookuna yali Adoniya eyazaalibwa Kaggisi, n’owokutaano yali Sefatiya eyazaalibwa Abitali;5n’ow’omukaaga yali Isuleyamu, eyazaalibwa Egula mukyala wa Dawudi.
Abo be baazaalirwa Dawudi mu Kebbulooni.