1 Ebyomumirembe6lug_bib
Ekika kya Leevi
1Batabani ba Leevi baali Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.2Batabani ba Kokasi ne baba Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.3Ate abaana ba Amulaamu baali Alooni, ne Musa ne Miryamu. Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.4Eriyazaali n’azaala Finekaasi, ate Finekaasi n’azaala Abisuwa;5Abisuwa n’azaala Bukki, ate Bukki n’azaala Uzzi;6Uzzi n’azaala Zerakiya, ne Zerakiya n’azaala Merayoosi;7Merayoosi n’azaala Amaliya, ne Amaliya n’azaala Akitubu;8Akitubu n’azaala Zadooki, ate Zadooki n’azaala Akimaazi;9Akimaazi n’azaala Azaliya, ne Azaliya n’azaala Yokanaani;10Yokanaani n’azaala Azaliya (oyo ye yaweerezanga nga kabona mu yeekaalu sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi);11Azaliya n’azaala Amaliya, ne Amaliya n’azaala Akitubu;12Akitubu n’azaala Zadooki, ne Zadooki n’azaala Sallumu;13Sallumu n’azaala Kirukiya, ne Kirukiya n’azaala Azaliya;14Azaliya n’azaala Seraya, ne Seraya n’azaala Yekozadaki;15Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza.16Batabani ba Leevi baali Gerusomu, ne Kokasi ne Merali.17Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusomu, ne Libuni ne Simeeyi.18Batabani ba Kokasi baali Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri.19Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi.Gino gy’emituba egy’Abaleevi okutandika ne bajjajja baabwe:20Abaava mu Gerusomu baali Libuni mutabani we, ne Yakasi, ne Zimura,21ne Yowa, ne Iddo, ne Zeera, ne Yeyaserayi.22Bazzukulu ba Kokasi baali Amminadaabu mutabani we, Koola muzzukulu we, Assiri muzzukulu we;23Erukaana muzzukulu we, Ebiyasaafu muzzukulu we, Assiri muzzukulu we;24Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we.25Batabani ba Erukaana baali Amasayi ne Akimosi,26ne bazzukulu be nga be ba Erukaana, ne Zofayi, ne Nakasi,27ne Eriyaabu, ne Yerokamu, ne Erukaana ne Samwiri.28Batabani ba Samwiri baali Yoweeri omuggulanda we, n’owokubiri nga ye Abiya.29Bazzukulu ba Merali baali Makuli, ne Libuni, ne Simeeyi, ne Uzza,30ne Simeeyi, ne Kaggiya ne Asaya, ng’omu ye kitaawe w’omulala nga bwe baddiriŋŋana.31Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu.32Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.33Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe: Okuva mu Abakokasi; Kemani, omuyimbi, mutabani wa Yoweeri, muzzukulu wa Samwiri,34muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu, muzzukulu wa Eryeri, muzzukulu wa Toowa,35muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Makasi, muzzukulu wa Amasayi;36muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Zeffaniya,37muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri, muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola,38muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi, muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Isirayiri.39Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati: Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeyi,40muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya, muzzukulu wa Malukiya,41muzzukulu wa Esuni, muzzukulu wa Zeera, muzzukulu wa Adaaya,42muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma, muzzukulu wa Simeeyi,43muzzukulu wa Yakasi, muzzukulu wa Gerusoni, mutabani wa Leevi.44Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi, Esani mutabani wa Kiisi, muzzukulu wa Abudi, muzzukulu wa Malluki,45muzzukulu wa Kasukabiya, muzzukulu wa Amaziya, muzzukulu wa Kirukiya, muzzukulu wa Amaziya,46muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani, muzzukulu wa Semeri,47muzzukulu wa Makuli, muzzukulu wa Musi, muzzukulu wa Merali, mutabani wa Leevi.48Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.