1 Ebyomumirembe5lug_bib
Ekika kya Lewubeeni
1Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri, ye yali omubereberye, naye nayonoona obufumbo bwa kitaawe, obusika bwe ng’omuggulanda ne buweebwa batabani ba Yusufu mutabani wa Isirayiri, kyeyava tabalirwa mu byafaayo ng’omubereberye.2Yuda yali w’amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava kabaka ow’eggwanga lya Isirayiri, wabula ebyobusika eby’obuggulanda byali bya mutabani wa Yusufu omukulu.3Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri baali:Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.4Ab’enda ya Yoweeri baali Semaaya mutabani we, ne Gogi muzzukulu we, ne Simeeyi muzzukulu we.5Mikka yali mutabani wa Simeeyi, ne Leyaya n’aba muzzukulu we, ne Baali n’aba muzzukulu we.6Mutabani wa Baali yali Beera, omukulu w’ekika ky’Abalewubeeni, Tirugazupiruneseri kabaka w’e Busuuli gwe yatwala mu buwaŋŋanguse.7Baganda be ng’enda zaabwe bwe zaali be bano: Yeyeri omukulu w’ekika, Zekkaliya,8Bera mutabani wa Azozi, muzzukulu wa Sema, muzzukulu wa Yoweeri.
Be baasenga mu Aloweri okutuuka e Nebo ne Baalu Myoni.9Ate baasenga n’ebuvanjuba w’eddungu okutuukira ddala ku mugga Fulaati, kubanga amagana gaabwe gaali gaaze nnyo.10Awo ku mirembe gya Sawulo ne balumba Abakaguli, era Abakaguli ne bagwa mu mikono gyabwe, era bali ne beegazaanyiza mu nsi y’Abakaguli okutuukira ddala ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Gireyaadi.