1 Ebyomumirembe3lug_bib
Ennyumba ya Dawudi
1Bano be baana Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni:Omuggulanda ye yali Amunoni gwe yazaala mu Akinoamu Omuyezuleeri; owookubiri ye yali Danyeri gwe yazaala mu Abbigayiri Omukalumeeri;2owookusatu ye yali Abusaalomu gwe yazaala mu Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w’e Gesuli; n’owookuna ye yali Adoniya gwe yazaala mu Kaggisi.3Owookutaano ye yali Sefatiya, gwe yazaala mu Abitali n’ow’omukaaga nga ye Isuleyamu gwe yazaala mu Egula.4Bano omukaaga Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni, gye yafugira emyaka musanvu n’emyezi mukaaga.
Dawudi yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu esatu,5era bano be baana be yazaalira eyo:
Simeeyi, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani be yazaala mu Besusebba muwala wa Amiyeeri.6N’abalala baali Ibukali, ne Erisaama, ne Erifereti,7ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya,8ne Erisaama, ne Eriyada, ne Erifereti, bonna awamu mwenda.9Bano bonna be baali batabani ba Dawudi, obutabala batabani be abalala aba bazaana be. Tamali ye yali mwannyinaabwe.