1 Ebyomumirembe26lug_bib
Ebibinja eby’Abaggazi
1Ebibinja by’Abaggazi byali:Mu Bakola, waaliyo Meseremiya mutabani wa Kole, omu ku batabani ba Asafu.2Meseremiya yalina abaana aboobulenzi nga Zekkaliya ye w’olubereberye, ne Yediyayeri nga wakubiri, ne Zebadiya nga wakusatu, ne Yasuniyeri nga wakuna,3ne Eramu nga wakutaano, ne Yekokanani nga wamukaaga, ne Eriwenayi nga wa musanvu.4Obededomu naye yalina abaana aboobulenzi nga Semaaya ye w’olubereberye, ne Yekozabadi nga wakubiri, ne Yowa nga wakusatu, ne Sakali nga wakuna, ne Nesaneeri nga wakutaano,5ne Ammiyeri nga wamukaaga, ne Isakaali nga wa musanvu, Pewulesayi nga wa munaana, Katonda gwe yawa omukisa.6Mutabani we Semaaya naye yalina abaana aboobulenzi, abaali abakulembeze mu nnyumba ya kitaabwe kubanga baali basajja bazira.7Batabani ba Semaaya baali Osuni, ne Lefayeri, ne Obedi ne Eruzabadi, ne baganda baabwe abaayitibwanga Eriku ne Semakiya nabo baali basajja bakozi.8Abo bonna baali bazzukulu ba Obededomu, era bonna awamu ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe abalala baali basajja bajjumbize, ate nga bakozi ab’amaanyi olw’omulimu ogwo. Bonna awamu baali nkaaga mu babiri.9Meseremiya naye yalina abaana aboobulenzi, n’ab’eŋŋanda ze bonna awamu abasajja abakozi, kkumi na munaana.10Kosa, omu ku bazzukulu ba Merali yalina abaana aboobulenzi nga Simuli ye mukulu, newaakubadde nga si ye yali omubereberye kitaawe yali amufudde omukulu;11Kirukiya nga wakubiri, ne Tebaliya nga wakusatu, ne Zekkaliya nga wakuna. Batabani ba Kosa n’ab’eŋŋanda be bonna awamu baali kkumi na basatu.12Ebibinja bino eby’abagazi, omwali abakulu b’ebyalo, baalina obuvunaanyizibwa okuweereza mu yeekaalu ya Mukama, ng’Abaleevi abalala bonna.13Ne bakubira obululu, buli nnyumba, abato n’abakulu, ng’emiryango bwe gyali.14Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya. Ate akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikakkono, ne kagwa ku Zekkaliya mutabani we, era omuteesa ow’amagezi.15Akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikaddyo kagwa ku Obededomu, ate ak’eggwanika ne kagwa ku batabani be.16Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebugwanjuba n’Omulyango Salekesi awaali olutindo okwambuka, ne kagwa ku Suppima ne Kosa.
Abakuumi baali boolekera bakuumi bannaabwe.17Ku luuyi olw’ebuvanjuba waaliyo Abaleevi mukaaga, olunaku, ne ku luuyi olw’obukiikakkono waaliyo bana olunaku ne ku luuyi olw’obukiikaddyo waaliyo bana olunaku, ne ku ggwanika babiri babiri.18Ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’oluggya waaliyo bana, ne mu Luggya lwennyini waaliyo babiri.19Eyo ye yali engabanya ey’abagazi abaali bazzukulu ba Kola ne Merali.